Featured

NUP EGENZE MU KKOOTI KU BYE KAYUNGA

Published

on

Ekibiina kya  National Unity Platform (NUP), kigamba nti kigenda kuddukira mu kkooti okuzza obuwanguzi bwa Harriet Nakweede ku bwa ssentebe bwa disitulikiti y’e Kayunga oluvannyuma lw’akakiiko okulangiriramu Munnakibiina kya NRM, Andrew Muwonge.

Banna NUP bategeezezza bannamawulire e Kamwokya mu Kampala nti ekyabadde e Kayunga bwabadde bubbi bwennyini kuba akalulu kano babadde bakawangudde kyokka akakiiko k’ebyokulonda ne kalangirira muntu mulala.

Omwogezi w’ekibiina kya NUP, Joel Ssenyonyi agamba akakiiko k’ebyokulonda kaagaana okubawa empapula okwagattirwa ebyava mu kalulu k’e Kayunga kubanga baali bakimanyi nti bye baakola byali byakifere. Ono agattako nti kati tebasaba busabi wabula babalagira babawe empapula ezo mu bwangu.

“Omuntu waffe atutegeezezza nti agenda kuddukira mu kkooti okuwakanya ebyavudde mu kalulu era tujja kumuwagira. Twagala okulaba oba ‘kaliculeeta’ za kkooti zo ziyinza okubala ebituufu okusinga Byabakama nga nayo bwe binaagaana tujja kubaanika lumu ne ne mukama waabwe.” Ssenyonyi bw’ategeezezza.

Ate ye eyavuganyizza ku bwa ssentebe bwa Kayunga,  Harriet Nakweede Kafeero agamba nti akakiiko k’ebyokulonda ka ddembe okubayita nekamulangirira ng’omuwanguzi nga basobola okwekwasa  kompyuta zaabwe  okuba nti zaafunyeemu obuzibu, ensi ejja kukitegeera.

Kinajjukirwa nti akulira eby’okulonda e Kayunga, Jennifer Kyobutungi yalangiridde Muwonge okubeera kubuwanguzi n’obululu 31,830 ate  Nakweede n’afuna  31,380 ng’enjawulo yabadde ya bululu 450 bwokka.

Aba NUP bagamba nti ekituufu n’aba NRM bakimanyi nti akalulu kano tebaakawangula era y’ensonga lwaki ab’akakiiko k’ebyokulonda tebaagala kubawa mpapula ziraga byavudde mu kulonda nga kati baakugenda mu kkooti balabe oba eneeyimirira ku mazima.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Trending

Exit mobile version